1 Kings 4:21-24

21 aSulemaani n’afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey’Abafirisuuti n’okutuuka ku nsalo ey’e Misiri, era baamuleeteranga ebirabo, era ne bamuweerezanga ennaku zonna ez’obulamu bwe
Ensalo z’obwakabaka bwa Sulemaani zaakoma yonna Katonda gye yali asuubizza Ibulayimu (Lub 15:18-21; Ma 1:7; 11:24; Yos 1:4).
.

22Bye baasoloolezanga Sulemaani ebya buli lunaku byali ebigero by’obutta obulungi kilo mukaaga n’obutundu mukaaga, n’ebigero eby’obutta obutaali buse, kilo kumi na ssatu n’obutundu bubiri; 23ente eza ssava kkumi, n’ente ezaavanga mu ddundiro amakumi abiri, wamu n’endiga kikumi, n’enjaza, n’empeewo, n’ennangaazi, n’enkoko ze baalondangamu. 24 cYafuganga ensi yonna eri emitala w’Omugga Fulaati, okuva e Tifusa
Tifusa kyali kibuga kikulu nga kisangibwa ku lubalama lw’Omugga Fulaati, nga kiri ku nsalo ey’omu bukiikakkono bw’obuvanjuba obw’obwakabaka. Gaaza ne Bufirisuuti okumpi n’ennyanja ya Meditereniyaani ye yali ensalo ey’omu bukiikaddyo bw’obuvanjuba obw’obwakabaka.
okutuuka e Gaaza, era yalina emirembe enjuuyi zonna okumwetooloola.
Copyright information for LugEEEE